Job 27

1 aYobu n’ayongera okwogera kwe bw’ati nti,

2 b“Nga Katonda bw’ali omulamu, agaanye okusala ensonga yange mu mazima,
oyo Ayinzabyonna, aleetedde emmeeme yange okulumwa,
3 cgye nkomye okuba nga nkyalina obulamu mu nze,
omukka gwa Katonda nga gukyali mu nnyindo zange,
4 demimwa gyange tegijja kwogera butali butuukirivu,
era olulimi lwange terujja kwogera bulimba.
5 eSirikkiriza nti muli batuufu;
okutuusa lwe ndifa, siryeggyako bugolokofu bwange.
6 fNzija kwongera okunywerera ku butuukirivu bwange obutabuleka;
omutima gwange tegunsalira musango nga nkyali mulamu.

7“Abalabe bange babeere ng’abakozi b’ebibi,
n’abo abangolokokerako babeere ng’abatali batuukirivu!
8 gKubanga ssuubi ki oyo atalina Katonda ly’aba nalyo ng’asaliddwako,
nga Katonda amuggyeko obulamu?
9 hKatonda awulira okukaaba kwe
ng’ennaku emujjidde?
10 iAlifuna essanyu mu oyo Ayinzabyonna?
Aliyita Katonda ebbanga lyonna?
11Nzija kubayigiriza ebikwata ku maanyi ga Katonda;
ebikwata ku oyo Ayinzabyonna sijja kubikweka.
12Weekalirize bino byonna bye mwerabiddeko,
lwaki kaakano okwogera ebyo ebitalina makulu?

Empeera y’abakozi b’ebibi

13 j“Eno y’empeera Katonda gy’awa abakozi b’ebibi,
omugabo omuntu omujoozi gw’afuna okuva eri oyo Ayinzabyonna:
14 kAbaana be ne bwe baba bangi batya, enkomerero yaabwe kitala;
ezzadde lye teririfuna byakulya bibamala.
15 lAbo abaliwona kawumpuli, balifa ne baziikibwa,
ne bannamwandu baabwe tebalibakaabira.
16 mWadde ng’atereka effeeza ng’enfuufu,
n’engoye ng’entuumo y’ebbumba,
17 nebyo bye yeeterekera omutuukirivu y’alibyambala,
era abo abatalina musango be baligabana effeeza ye.
18 oEnnyumba gy’azimba eribeera ng’ey’ekiwojjolo;
ng’akasiisira akazimbiddwa omukuumi.
19 pAgenda okwebaka nga mugagga, naye ekyo tekiddemu kubaawo,
kubanga alizuukuka nga byonna biweddewo.
20 qEntiisa erimuzingako ng’amataba;
kibuyaga amutwala ekiro mu kyama.
21 rEmbuyaga ey’ebuvanjuba emutwalira ddala n’agenda;
emuggya mu kifo kye n’amaanyi.
22 sEmukuba awatali kusaasira,
ng’adduka ave mu maanyi gaayo.
23 tErimukubira engalo zaayo,
n’emusiiya okuva mu kifo kye.”
Copyright information for LugEEEE